Yenze Lyrics
- Genre:Others
- Year of Release:2023
Lyrics
Yenze - Iryn Namubiru
...
ehhh ohhh
tuyise mubingi nyo byetutayogerere mu bantu
ebisiriko mu mukwano mbuno bya buntu
embeera y'omukwano ebaddewo ohh ?
Nga tondekulira mutima, for better for worse, obeerawo era mu maziga.
Empewo ngeze, obeerawo era nombika.
yegwe munange, ankwata ng'omusubaawa.
ne mumpewo, ofunayo ekinantasa.
CHORUS ×2
Ohh omukyala alikufumbira, yenze.
Alikuw'amasanyu agatagambika, yenze.
oh oh alikuzaalira, yenze. ohhh baby
Obwongo n'omutima bye birungamya ..
Bye byakuseemba ne bikuwanguza akalulu, onkwata na bulungi onkwata nga akakyayoonka ,oba akalira komwana.
Bogeere, bogeere nga bwe nfumba.
Luwombo Lw'akattiko ekyenyanja n'ebbugga .
ebyensonyi ndibikola kuba gwe gwenganza ? akalosa k'omwana.
Wamponya agalenzi g'amalala
onfudde ne maama.
CHORUS ×2
Nebaaza mukama, oyo kabaka ah ah
kyosaba mukama akikuwa.
Namusaba omwami nakumpa.
yegwe munange, ankwata ng'omusubaawa, nemumpewo ofunayo ekinantasa.
CHORUS ×2